Settings
Surah The Traducer [Al-Humaza] in Luganda
وَیۡلࣱ لِّكُلِّ هُمَزَةࣲ لُّمَزَةٍ ﴿1﴾
1. Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo.
ٱلَّذِی جَمَعَ مَالࣰا وَعَدَّدَهُۥ ﴿2﴾
2. Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma.
یَحۡسَبُ أَنَّ مَالَهُۥۤ أَخۡلَدَهُۥ ﴿3﴾
3. Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi obugenderevu.
كَلَّاۖ لَیُنۢبَذَنَّ فِی ٱلۡحُطَمَةِ ﴿4﴾
4. Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”.
وَمَاۤ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلۡحُطَمَةُ ﴿5﴾
5. Ye omanyi “Hutwama” kye ki?
نَارُ ٱللَّهِ ٱلۡمُوقَدَةُ ﴿6﴾
6. (Hutwama) muliro gwa Katonda omukume, ogubumbujja.
ٱلَّتِی تَطَّلِعُ عَلَى ٱلۡأَفۡـِٔدَةِ ﴿7﴾
7. Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima.
إِنَّهَا عَلَیۡهِم مُّؤۡصَدَةࣱ ﴿8﴾
8. Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira.
فِی عَمَدࣲ مُّمَدَّدَةِۭ ﴿9﴾
9. Mu midumu emiwanvu.
English
Chinese
Spanish
Portuguese
Russian
Japanese
French
German
Italian
Hindi
Korean
Indonesian
Bengali
Albanian
Bosnian
Dutch
Malayalam
Romanian